Isaiah 37

Keezeekiya Akaabirira Mukama

1Awo kabaka Keezeekiya bwe yabiwulira n’ayuza engoye ze n’ayambala ebibukutu n’ayingira mu nnyumba ya Mukama. 2 aN’atuma Eriyakimu eyali akulira olubiri ne Sebuna omuwandiisi ne bakabona abakulu, nga bambadde ebibukutu, eri nnabbi Isaaya mutabani wa Amozi. 3 bNe bamugamba nti, “Keezeekiya atutumye okukugamba nti, Olunaku luno lunaku lwa kulabiramu nnaku era lwa kuvumirwamu era lwa kujoogebwa; kubanga abaana batuuse okuzaalibwa naye nga tewali maanyi ga kubazaala. 4 cOboolyawo Mukama Katonda wo anaawulira ebigambo bya Labusake eyatumibwa kabaka w’e Bwasuli mukama we okuvuma Katonda omulamu, Mukama Katonda wo n’amunenya olw’ebigambo by’awulidde: Kale waayo okusaba kwo wegayiririre ekitundu ekikyasigaddewo.”

5Abaddu ba kabaka Keezeekiya bwe bajja eri Isaaya, 6 dIsaaya n’abagamba nti, “Mutegeeze mukama wammwe nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, Ebigambo by’owulidde abaddu ba kabaka w’e Bwasuli bye banvumye, tebikutiisa. 7 eLaba ndimusindikira omwoyo omubi, awulire olugambo addeyo mu nsi ye. Era eyo gye ndimuzikiririza afe ekitala.’ ”

8 fAwo Labusake omuduumizi wa Bwasuli bwe yaddayo, n’asanga kabaka w’e ng’alwana ne Libuna: kubanga yawulira nti avudde e Lakisi.

9 gAte era kabaka Sennakeribu n’afuna obubaka nti Tiraaka kabaka w’e Kuusi azze okumulwanyisa. Bwe yakiwulira n’asindika ababaka eri Keezeekiya n’obubaka buno nti, 10 h“Keezeekiya kabaka wa Yuda mumugambe nti, Katonda wo gwe weesiga takulimbanga ng’ayogera nti, ‘Yerusaalemi tekirigabulwa mu mukono gwa kabaka w’e Bwasuli.’ 11 iLaba wawulira bakabaka b’e Bwasuli kye baakola amawanga gonna, ne bagazikiririza ddala. Mwe munaawona? 12 jAmawanga bakitange ge baasaanyaawo, Gozani, ne Kalani, ne Lezefu n’abantu ba Adeni abaabanga mu Terasali, bakatonda baago, baabayamba? 13Ali ludda wa kabaka w’e Kamasi ne kabaka w’e Alupadi ne kabaka w’ekibuga Sefarayimu oba ow’e Keena, oba ow’e Yiva?”

Okusaba kwa Keezeekiya

14Keezeekiya n’aggya ebbaluwa mu mukono gw’ababaka n’agisoma: Keezeekiya n’ayambuka mu nnyumba ya Mukama n’agyanjuluza mu maaso ga Mukama. 15N’asaba ne yeegayirira Mukama nga agamba nti, 16 k“Ayi Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri, atuula wakati mu bakerubbi, ggwe Katonda wekka afuga obwakabaka bwonna obw’omu nsi, ggwe wakola eggulu n’ensi. 17 lOtege okutu kwo Ayi Mukama owulire, ozibule amaaso go, Ayi Mukama, olabe: owulire ebigambo byonna ebya Sennakeribu by’aweerezza okuvuma Katonda omulamu.

18 m“Mazima ddala Mukama, bakabaka b’e Bwasuli baazisa amawanga gonna n’ensi zaago, 19 nne basuula bakatonda baabwe mu muliro: kubanga tebaali bakatonda, naye mulimu gwa ngalo z’abantu, miti na mayinja; kyebaava babazikiriza. 20 oKale nno, ayi Mukama Katonda waffe, tulokole mu mukono gwa Sennakeribu, obwakabaka bwonna obw’ensi butegeere nga ggwe wekka ggwe Mukama.”

21 pAwo Isaaya mutabani wa Amozi n’atumira Keezeekiya ng’ayogera nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda wa Isirayiri nti, Kubanga onneegayiridde ku bya Sennakeribu kabaka w’e Bwasuli, 22 qkino kye kigambo kye mmwogeddeko:

“ ‘Omuwala wa Sayuuni embeerera
akunyooma era akusekerera.
Omuwala wa Yerusaalemi
akunyeenyeza omutwe gwe nga bw’odduka.
23 rAni gw’ovumye
gw’ovodde?
Era ani gw’oyimuyisirizzaako eddoboozi lyo n’okanulira n’amaaso?
Omutukuvu wa Isirayiri!
24 sOkozesezza abaddu bo
okuvuma Mukama n’oyogera nti,
Nyambuse n’amagaali gange amangi ku ntikko y’olusozi,
ntuuse ku njuyi ez’omunda eza Lebanooni;
era ntemedde ddala emivule gyakwo emiwanvu,
n’enfugo zaakwo ezisinga obulungi,
era natuuka ne ku lusozi lwakwo olukomererayo,
ekibira kyayo ekisinga obunene.
25 tWaduula nti wasima enzizi
era n’onywa n’amazzi mu mawanga
era nti ebigere by’abajaasi bo
byakaliza amazzi g’omugga Kiyira mu Misiri.’

26 u“Tewawulira nga nakisalawo dda?
Nakiteekateeka dda.
Mu biro eby’edda nakiteekateeka;
era kaakano nkituukirizza,
olyoke ofuule ebibuga ebiriko bbugwe
okuba ng’entuumo y’amayinja.
27 vAbantu baamu kyebaavanga baggwaamu amaanyi,
ne baterebuka
ne bakeŋŋentererwa
ne baba ng’essubi mu nnimiro, ng’omuddo omuto,
ng’omuddo ogumera ku nnyumba
ogwokebwa ne gufa nga tegunnakula.

28 w“Naye mmanyi obutuuliro bwo
era mmanyi okufuluma kwo n’okuyingira kwo
n’obuswandi bw’ondaga.
29 xKubanga oneereegeddeko,
okwepanka kw’okoze nkutuuseeko.
Era kaakano ntuuse okuteeka eddobo mu nnyindo zo,
Abasuli baateekanga amalobo mu nnyindo zaabo be baawambanga, ne baddira n’oluuma ne bafumita mu mimwa gy’abo be baawambanga

n’oluuma ndufumite mu mimwa gyo,
nkuzzeeyo
ng’opaala mu kkubo lye wajjiramu.”

Katonda Atuukiriza Ekisuubizo kye

30Awo Isaaya n’agamba Keezeekiya nti,

“Kano ke kabonero akanaakuweebwa:
Omwaka guno mugenda kulya eŋŋaano eyeemeza yokka.
Eno gye muliryako n’omwaka ogwokubiri.
Mu mwaka ogwokusatu
mulirya ku birime byammwe bye musize
era ne mukungula mu nnimiro zammwe ez’emizabbibu.
31 zAbantu ba Yuda abalifikkawo baliba ng’ebisimbe
emirandira gyabyo nga gikka wansi ate nga bigimuka ne bibala.
32 aaMu Yerusaalemi walibaawo abalisigalawo
ne ku Lusozi Sayuuni walibeerawo abaliwona,
kubanga Mukama Ayinzabyonna mu bumalirivu bwe,
yeewaddeyo okukikola.
33“Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Mukama ku bikwata ku Kabaka w’e Bwasuli nti,

“Kabaka oyo taliyingira mu kibuga kino
wadde okulasayo akasaale.
Talikisemberera n’engabo
newaakubadde okutuumako ekifunvu ng’akitaayiza.
34 abEkkubo lye yajjiramu lye limu ly’anaakwata okuddayo.
Tajja kuyingira mu kibuga kino,”
bw’ayogera Mukama.
35 ac“Ndirwanirira ekibuga kino
nkirokole.”
36 adAwo malayika wa Mukama n’afuluma n’atta mu lusiisira olw’Abasuli abantu emitwalo kkumi na munaana mu enkumi ttaano. Abaasigalawo bagenda okuzuukuka enkya nga wonna wajjudde mirambo. 37 aeAwo Sennakeribu kabaka w’e Bwasuli n’avaayo n’addayo n’abeera e Nineeve.

38 afLumu bwe yali ng’asinziza mu ssabo lya Nisuloki katonda we, Adulammereki, ne Salezeri batabani be ne bamusalira olukwe ne bamutta: ne baddukira mu nsi ya Alalati. Esaludooni mutabani we n’amusikira.

Copyright information for LugEEEE